Romans 3:9-19

Tewali mutuukirivu n’omu

9 aBino byonna bitegeeza ki? Kitegeeza nti ffe Abayudaaya tuli bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna? Nedda, n’akatono. Ffenna tufugibwa kibi, ne bwe baba Abayudaaya oba Abaamawanga. 10Ng’ebyawandiikibwa bwe bigamba nti:

“Tewali mutuukirivu n’omu.
11Tewali ategeera
wadde anoonya Katonda.
12 bBonna baakyama,
bonna awamu baafuuka kitagasa;
tewali n’omu akola obulungi,
tewali n’omu.”
13 c“Emimiro gyabwe giringa entaana ezaasaamiridde,
n’emimwa gyabwe gijjudde obulimba.”
“Buli kigambo ekibavaamu kiri ng’obusagwa bw’omusota.”
14 d“Emimwa gyabwe gijjudde okukolima n’obukyayi.”
15“Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi,
16buli gye balaga baleka abantu baayo mu kuzikirira na mu nnaku njereere.
17Tebamanyi kkubo lya mirembe.”
18 e“N’okutya tebatya Katonda.”
19 fTumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lw’abo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ng’ensi yonna bwe yasobya.
Copyright information for LugEEEE